Luganda Radio Podcast
Luganda Radio Podcast is a station dedicated to the popularization and promotion of Luganda language in the diaspora. The presenter reads famous Luganda books and folktales for listeners to enjoy, reflect and learn about Luganda and the rich culture of the Baganda people.
Nketta Mu Bizinga Ep4: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 3

Nga omukessi waffe amaze okubega aba Japaani okumala ebbanga eriwera, olutalo lubalukawo era akimanya nti eyamwalula essiridde anti aba Japaani baali bamaze okumugwaamu. Wano alina kugumya mbiro nakukozesa obukodyo obw'ekika ekyawaggulu okusobola okudduka ku ba Japaani.
Nketta Mu Bizinga Ep3: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 2

Omuwandiisi yeeyongera okutunyumiza emboozi yobukessi bwe mu bizinga Yugoyugo
Nketta Mu Bizinga Ep2: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 1

Tutuuse e'YugoYugo era tutandise tulaba nga ddala ekizinga kiri mulutalo era aba Japaani bakyetoloola dda. Nga ojjeeko bo aba Japaani, waliyo ebirala ebitiisa byetugenda okwerolera.
Nketta Mu Bizinga Ep1: Nketta Mu Bizinga by'e Yugoyugo

Omuwandiisi EKN Kawere atandika emboozi ye nga atutegeeza nti yali amaze ebbanga nga tayagala kunyumya mboozi eno eyobukessi gyeyaliko mu bizinga by'e YugoYugo naye agenze okulaba nga ejja kunyumira abo bonna abanaafuna omukisa okugiwuliriza. Atubuulira engeri ye nebanne gyebatambulamu okuyita mu mawanga g'Abawalabu okutuuka e'YugoYugo.
Omuganda N'enswa Ep16: Ekitundu Kyokubiri Part 3

Omwandiisi amaliriza akatabo kano nga atubuulira abalabe b'enswa awamu n'obuwangwa bw'enswa.
Omuganda N'enswa Ep15: Ekitundu Kyokubiri Part 2

Omuwandiisi atuyigiriza ku kabi akali mu nswa awamu n'ebika byazo ebyenjawulo
Omuganda N'enswa Ep14: Ekitundu Kyokubiri Part 1

Omuwandiisi atandika okutunyumiza ku migaso gyenswa, ebisangibwa mukiswa n'emmere yaazo
Omuganda N'enswa Ep13: Obutiko

Omuwandiisi ayongera ate okutunyumiza obutiko obumera okuva mu mirimu gy'enswa.
Omuganda N'enswa Ep12: Obumpowooko

Omuwandiisi atuteerako emboozi yobuswa obumpowooko
Omuganda N'enswa Ep11: Olubobya

Omuwandiisi atubuulira ebyo ebikwata ku luswa olubobya.
Omuganda N'enswa Ep10: Enswa Embaala

Omwandiisi atunyumiza ku bikwata ku nswa embaala.
Omuganda N'enswa Ep9: Entunda

Omuwandiisi atandika okutubuulira ku biwakwata ku nswa Entunda.
Omuganda N'enswa Ep8: Enswa Empawu

Owandiisi atunyumiza kubyayize ku nswa empawu
Omuganda N'enswa Ep7: Enswa Ensejjere Part 3

Wano omuwandiisi amaliriza okutubuulira ebikwata ku nswa ensejjere era natutegeeza n'ekubutiko bw'enswa zino.
Omuganda N'enswa Ep6: Enswa Ensejjere Part 2

Omuwandiisi ayongera okutunyonnyola ku nswa ensejjere.
Omuganda N'enswa Ep5: Enswa Ensejjere Part 1

Omuwandiisi atandika okutunyumiza enswa Ensejjere engeri yokuzitta, ate n'omugazo gwaazo
Omuganda Nenswa Ep4: Enswa Ennaka Part 4

Omuwandiisi afundikira ebigambo bye ku nswe ennaka ate natuyigiriza nekubutiko obunakanaka.
Omuganda Nenswa Ep3: Enswa Ennaka Part 3

Omuwandiisi ayongera okutusomesa ku ngeri omubissi gyakwatamu enswa era atulaga essanyu eribeerawo nga akomyeewo ewaka n'omugugu gw'enswa.
Omuganda Nenswa Ep2: Enswa Ennaka Part 2

Omuwandiisi ayongera okutubuulira ku nswa Ennaka, era essira aliteeka nnyo ku ngeri gyezikwatibwamu.
Omuganda Nenswa Ep1: Enswa Ennaka Part 1

Owandiisi atandika okutusomesa ku nswa ennaka, enfaanana yaazo, emigaso gyaazo era nengeri gyezitegebwaamu.
Omuganda N'enswa: Entandikwa

Omuganda N'enswa ky'ekitabo ekitottola akawonvu n'akagga kalonda ku nswa n'ennono y'Omuganda ekwata ku biwuka bino.
Pawulo Kirimuttu EP16: Kirimuttu Kimanyibwa Nyinikyo Part 2

Pawulo embeera yamuyitirirako era ebirowoozo ebingi byeyalina byamubagula mukiro neyesolossa mu lusaalu era yamaliriza yeyimbyeemu ogwakabugu.
Pawulo Kirimuttu EP15: Kirimuttu Kimanyibwa Nyinikyo Part 1

Nga buli kimu kimaze okwonoonekera Pawulo, yaddayo mukyalo alabe oba asobola okuba nentandikwa. Yadde awaka waali wafuuka matongo, yasanga Nambalirwa ku Wabinoga nasuubira nti osanga bayinza okuddamu okutandika omukwano gwabwe guli ogwedda.
Pawulo Kirimuttu EP14: Katayira Anyumiza Abasomi

Pawulo byonna ebyamutuukako bweyatomera Lukenge byafulumira ne mumawulire. Ate yali yaakamanya ebyaali mu mamuwulire, agenda okutuuka eka nga ate buli kamu keyalina nga bakabbye!
Pawulo Kirimuttu EP13: Agenekera Atuma Asa

Pawulo yawakankula musonso ye nagivuga nga alinga aliko omuzimu. Buli gyeyayita baali bamukubira nduulu era yamaliriza akoonye mwana mulenzi ate gweyali alinako akakuku.
Pawulo Kirimuttu EP12: Emmwanyi Gye Weesiga Part 2

Lukenge yefudde wakayima anti yategeerera Pawulo ate yategeerera ne TN. Olowooza Pawulo agenda kukola atya?
Pawulo Kirimuttu EP11: Emmwanyi Gye Weesiga Part 1

Abo bolowooza nti bakwano bo bakwogerako ki eyo era bakwagaliza ki? Lukenge nfa nfe wa Pawulo teyalwa kumwefuulira.
Pawulo Kirimuttu EP10: Pawulo Mu Mbuga Y'ekika

Pawulo yamalira eyali agenze mulumbe ate yamalira mu mbuga ya kika. Omusango, kwookya nsiisira? Yeyaguzza? Tuwulirize tulabe.
Pawulo Kirimuttu EP9: Nkonkonjeru

Nkokonjeru anti yeeyoleka mangu. Omuwandiisi atulaga Pawulo engeri gyeyali atereddemu, buli muntu eyali amumanyi naddala abo abomukyalo bamusimbamu oluseke.
Pawulo Kirimuttu EP8: Ofunda N'omuliika Part 2

Pawulo agwa ku lubabu lwabazadde ba Nambalirwa anti tebaali basanyufu okuzuula nti Pawulo yali asobezza muwala wabwe.
Pawulo Kirimuttu EP7: Ofunda N'omuliika Part 1

Pawulo ngamaze okunoonya emirimu negibula yasalawo asomese ku ssomero lya Sekondale. Eyo gyeyasanga akawala ka Nnambalirwa era nakatikka erya'Mugema.
Pawulo Kirimuttu EP6: Nze Omuweereza Wo Omwesigwa

Pawulo nga akomyeewo atandika okunoonya ku mirimu naye akigwako okwesanga nti buli weyasaba, omulimu tebamuwa, kuba teyatoola nguzi.
Pawulo Kirimuttu EP5: Kalyamaggwa

Pawulo aluka olukwe olumuyamba okusobola okuva e Bungereza, addeyo alabe ku bekika nabenganda, awamu nokutandika okukolera ku boobwe.
Pawulo Kirimuttu EP4: Alekerera Amaliire Ge

Emisomo Paulo yagikuba budinda, era ku lunaku lwokuttikirwa yafuna omukisa okwogera eri abayizi, beyasobola okusomesa ku b'Afirika nengeri abazungu gyebalina okulekera okukyuusa obuwangwa bwabwe. Awo ku nkomerero yekitundu kino, yafuna ekyewuunyo okuva eri omuwala Flora.
Pawulo Kirimuttu EP3: Okutambula Kulaba, Okudda Kutenda

Paulo nga atuuse e Bungereza yayiga mangu nnyo embeera zaayo era yakola n'emikwano egyamutwala mu binyumu mpozzi olumu n'okumenya ku mateeka ga Kolegi mu bwegendereza.
Pawulo Kirimuttu EP2: Emizimu Gyabajjajjaabo Gikuwerekereko Paulo

Paulo atuuse okusiibula agende e Buzungu asome. Atandikira wa Ssenga era Ssenga'we ayita ekyalo kyonna kimusibirire entanda.
Pawulo Kirimuttu EP1: Ssekamuli Kansaze

Omuwandiisi asumulula emboozi nga atunyumiza ebikwata ku mulenzi Pawulo eyali omuvubuka embula kalevu, omulungi era omusomi kungwa. Atulaga amaziika ge agennaku anti yasangibwa yetuze.
Pawulo Kirimuttu: Entandikwa

Omuvubuka omuto omugagga ate ey'asoma nakamala, nga alina n'omulimu ogumuwa lupiiya ate lwaki yeetuga? Tuula tusoosotole Pawulo Kirimuttu.
Bonna Baasumagira? EP12

Bonna Baasumagira? Ye kituufu bonna baasumagira. Kubanga ssinga Kate teyasumagira nasoma namaliriza emisomo gye, yandibadde alinga banne abaasoma, Ne John singa yali tayonoonye nsimbi ze mubakazi osanga yandibadde mugagga.
Bonna Baasumagira? EP11

Kate yayagala okulaga John nga bwali ow'ekitalo ennyo. Yasalawo n'agenda mu baala ne Peter nga amanyi bulungi nti John naye ajja kuyitirayo.