Luganda Radio Podcast

40 Episodes
Subscribe

By: Martin Muganzi

Luganda Radio Podcast is a station dedicated to the popularization and promotion of Luganda language in the diaspora. The presenter reads famous Luganda books and folktales for listeners to enjoy, reflect and learn about Luganda and the rich culture of the Baganda people.

✂️ Clip this podcast
Nketta Mu Bizinga Ep4: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 3
Nketta Mu Bizinga Ep4: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 3 episode artwork
#4
09/06/2024

Nga omukessi waffe amaze okubega aba Japaani okumala ebbanga eriwera, olutalo lubalukawo era akimanya nti eyamwalula essiridde anti aba Japaani baali bamaze okumugwaamu. Wano alina kugumya mbiro nakukozesa obukodyo obw'ekika ekyawaggulu okusobola okudduka ku ba Japaani.


Nketta Mu Bizinga Ep3: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 2
Nketta Mu Bizinga Ep3: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 2 episode artwork
#3
09/03/2024

Omuwandiisi yeeyongera okutunyumiza emboozi yobukessi bwe mu bizinga Yugoyugo


Nketta Mu Bizinga Ep2: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 1
Nketta Mu Bizinga Ep2: Nsimba Ekigere Mu Yugoyugo Part 1 episode artwork
#2
08/24/2024

Tutuuse e'YugoYugo era tutandise tulaba nga ddala ekizinga kiri mulutalo era aba Japaani bakyetoloola dda. Nga ojjeeko bo aba Japaani, waliyo ebirala ebitiisa byetugenda okwerolera.


Nketta Mu Bizinga Ep1: Nketta Mu Bizinga by'e Yugoyugo
Nketta Mu Bizinga Ep1:  Nketta Mu Bizinga  by'e Yugoyugo episode artwork
#1
08/21/2024

Omuwandiisi EKN Kawere atandika emboozi ye nga atutegeeza nti yali amaze ebbanga nga tayagala kunyumya mboozi eno eyobukessi gyeyaliko mu bizinga by'e YugoYugo naye agenze okulaba nga ejja kunyumira abo bonna abanaafuna omukisa okugiwuliriza. Atubuulira engeri ye nebanne gyebatambulamu okuyita mu mawanga g'Abawalabu okutuuka e'YugoYugo.


Omuganda N'enswa Ep16: Ekitundu Kyokubiri Part 3
Omuganda N'enswa Ep16: Ekitundu Kyokubiri Part 3 episode artwork
#16
08/17/2024

Omwandiisi amaliriza akatabo kano nga atubuulira abalabe b'enswa awamu n'obuwangwa bw'enswa.


Omuganda N'enswa Ep15: Ekitundu Kyokubiri Part 2
Omuganda N'enswa Ep15: Ekitundu Kyokubiri Part 2 episode artwork
#15
08/13/2024

Omuwandiisi atuyigiriza ku kabi akali mu nswa awamu n'ebika byazo ebyenjawulo


Omuganda N'enswa Ep14: Ekitundu Kyokubiri Part 1
Omuganda N'enswa Ep14: Ekitundu Kyokubiri Part 1 episode artwork
#14
08/11/2024

Omuwandiisi atandika okutunyumiza ku migaso gyenswa, ebisangibwa mukiswa n'emmere yaazo


Omuganda N'enswa Ep13: Obutiko
Omuganda N'enswa Ep13: Obutiko episode artwork
#13
08/08/2024

Omuwandiisi ayongera ate okutunyumiza obutiko obumera okuva mu mirimu gy'enswa.


Omuganda N'enswa Ep12: Obumpowooko
Omuganda N'enswa Ep12: Obumpowooko episode artwork
#12
08/06/2024

Omuwandiisi atuteerako emboozi yobuswa obumpowooko


Omuganda N'enswa Ep11: Olubobya
Omuganda N'enswa Ep11: Olubobya episode artwork
#11
08/04/2024

Omuwandiisi atubuulira ebyo ebikwata ku luswa olubobya.


Omuganda N'enswa Ep10: Enswa Embaala
Omuganda N'enswa Ep10: Enswa Embaala episode artwork
#10
08/01/2024

Omwandiisi atunyumiza ku bikwata ku nswa embaala.


Omuganda N'enswa Ep9: Entunda
Omuganda N'enswa Ep9: Entunda episode artwork
#9
07/30/2024

Omuwandiisi atandika okutubuulira ku biwakwata ku nswa Entunda.


Omuganda N'enswa Ep8: Enswa Empawu
Omuganda N'enswa Ep8: Enswa Empawu episode artwork
#8
07/27/2024

Owandiisi atunyumiza kubyayize ku nswa empawu


Omuganda N'enswa Ep7: Enswa Ensejjere Part 3
Omuganda N'enswa Ep7: Enswa Ensejjere Part 3 episode artwork
#7
07/24/2024

Wano omuwandiisi amaliriza okutubuulira ebikwata ku nswa ensejjere era natutegeeza n'ekubutiko bw'enswa zino.


Omuganda N'enswa Ep6: Enswa Ensejjere Part 2
Omuganda N'enswa Ep6: Enswa Ensejjere Part 2 episode artwork
#6
07/21/2024

Omuwandiisi ayongera okutunyonnyola ku nswa ensejjere.


Omuganda N'enswa Ep5: Enswa Ensejjere Part 1
Omuganda N'enswa Ep5: Enswa Ensejjere Part 1 episode artwork
#5
07/18/2024

Omuwandiisi atandika okutunyumiza enswa Ensejjere engeri yokuzitta, ate n'omugazo gwaazo


Omuganda Nenswa Ep4: Enswa Ennaka Part 4
Omuganda Nenswa Ep4: Enswa Ennaka Part 4 episode artwork
#4
07/15/2024

Omuwandiisi afundikira ebigambo bye ku nswe ennaka ate natuyigiriza nekubutiko obunakanaka.


Omuganda Nenswa Ep3: Enswa Ennaka Part 3
Omuganda Nenswa Ep3: Enswa Ennaka Part 3 episode artwork
#3
07/12/2024

Omuwandiisi ayongera okutusomesa ku ngeri omubissi gyakwatamu enswa era atulaga essanyu eribeerawo nga akomyeewo ewaka n'omugugu gw'enswa.


Omuganda Nenswa Ep2: Enswa Ennaka Part 2
Omuganda Nenswa Ep2: Enswa Ennaka Part 2 episode artwork
#2
07/10/2024

Omuwandiisi ayongera okutubuulira ku nswa Ennaka, era essira aliteeka nnyo ku ngeri gyezikwatibwamu.


Omuganda Nenswa Ep1: Enswa Ennaka Part 1
Omuganda Nenswa Ep1: Enswa Ennaka Part 1 episode artwork
#1
05/30/2024

Owandiisi atandika okutusomesa ku nswa ennaka, enfaanana yaazo, emigaso gyaazo era nengeri gyezitegebwaamu.


Omuganda N'enswa: Entandikwa
Omuganda N'enswa: Entandikwa episode artwork
05/28/2024

Omuganda N'enswa ky'ekitabo ekitottola akawonvu n'akagga kalonda ku nswa n'ennono y'Omuganda ekwata ku biwuka bino.


Pawulo Kirimuttu EP16: Kirimuttu Kimanyibwa Nyinikyo Part 2
Pawulo Kirimuttu EP16: Kirimuttu Kimanyibwa Nyinikyo Part 2 episode artwork
#16
05/24/2024

Pawulo embeera yamuyitirirako era ebirowoozo ebingi byeyalina byamubagula mukiro neyesolossa mu lusaalu era yamaliriza yeyimbyeemu ogwakabugu.


Pawulo Kirimuttu EP15: Kirimuttu Kimanyibwa Nyinikyo Part 1
Pawulo Kirimuttu EP15: Kirimuttu Kimanyibwa Nyinikyo Part 1 episode artwork
#15
05/21/2024

Nga buli kimu kimaze okwonoonekera Pawulo, yaddayo mukyalo alabe oba asobola okuba nentandikwa. Yadde awaka waali wafuuka matongo, yasanga Nambalirwa ku Wabinoga nasuubira nti osanga bayinza okuddamu okutandika omukwano gwabwe guli ogwedda.


Pawulo Kirimuttu EP14: Katayira Anyumiza Abasomi
Pawulo Kirimuttu EP14: Katayira Anyumiza Abasomi episode artwork
#14
05/17/2024

Pawulo byonna ebyamutuukako bweyatomera Lukenge byafulumira ne mumawulire. Ate yali yaakamanya ebyaali mu mamuwulire, agenda okutuuka eka nga ate buli kamu keyalina nga bakabbye!


Pawulo Kirimuttu EP13: Agenekera Atuma Asa
Pawulo Kirimuttu EP13: Agenekera Atuma Asa episode artwork
#13
05/14/2024

Pawulo yawakankula musonso ye nagivuga nga alinga aliko omuzimu. Buli gyeyayita baali bamukubira nduulu era yamaliriza akoonye mwana mulenzi ate gweyali alinako akakuku.


Pawulo Kirimuttu EP12: Emmwanyi Gye Weesiga Part 2
Pawulo Kirimuttu EP12: Emmwanyi Gye Weesiga Part 2 episode artwork
#12
05/10/2024

Lukenge yefudde wakayima anti yategeerera Pawulo ate yategeerera ne TN. Olowooza Pawulo agenda kukola atya?


Pawulo Kirimuttu EP11: Emmwanyi Gye Weesiga Part 1
Pawulo Kirimuttu EP11: Emmwanyi Gye Weesiga Part 1 episode artwork
#11
05/06/2024

Abo bolowooza nti bakwano bo bakwogerako ki eyo era bakwagaliza ki? Lukenge nfa nfe wa Pawulo teyalwa kumwefuulira.


Pawulo Kirimuttu EP10: Pawulo Mu Mbuga Y'ekika
Pawulo Kirimuttu EP10: Pawulo Mu Mbuga Y'ekika episode artwork
#10
05/04/2024

Pawulo yamalira eyali agenze mulumbe ate yamalira mu mbuga ya kika. Omusango, kwookya nsiisira? Yeyaguzza? Tuwulirize tulabe.


Pawulo Kirimuttu EP9: Nkonkonjeru
Pawulo Kirimuttu EP9: Nkonkonjeru episode artwork
#9
05/02/2024

Nkokonjeru anti yeeyoleka mangu. Omuwandiisi atulaga Pawulo engeri gyeyali atereddemu, buli muntu eyali amumanyi naddala abo abomukyalo bamusimbamu oluseke.


Pawulo Kirimuttu EP8: Ofunda N'omuliika Part 2
Pawulo Kirimuttu EP8: Ofunda N'omuliika Part 2 episode artwork
#8
05/01/2024

Pawulo agwa ku lubabu lwabazadde ba Nambalirwa anti tebaali basanyufu okuzuula nti Pawulo yali asobezza muwala wabwe.


Pawulo Kirimuttu EP7: Ofunda N'omuliika Part 1
Pawulo Kirimuttu EP7: Ofunda N'omuliika Part 1 episode artwork
#7
04/17/2024

Pawulo ngamaze okunoonya emirimu negibula yasalawo asomese ku ssomero lya Sekondale. Eyo gyeyasanga akawala ka Nnambalirwa era nakatikka erya'Mugema.


Pawulo Kirimuttu EP6: Nze Omuweereza Wo Omwesigwa
Pawulo Kirimuttu EP6: Nze Omuweereza Wo Omwesigwa episode artwork
#6
04/16/2024

Pawulo nga akomyeewo atandika okunoonya ku mirimu naye akigwako okwesanga nti buli weyasaba, omulimu tebamuwa, kuba teyatoola nguzi.


Pawulo Kirimuttu EP5: Kalyamaggwa
Pawulo Kirimuttu EP5: Kalyamaggwa episode artwork
#5
04/12/2024

Pawulo aluka olukwe olumuyamba okusobola okuva e Bungereza, addeyo alabe ku bekika nabenganda, awamu nokutandika okukolera ku boobwe.


Pawulo Kirimuttu EP4: Alekerera Amaliire Ge
Pawulo Kirimuttu EP4: Alekerera Amaliire Ge episode artwork
#4
04/09/2024

Emisomo Paulo yagikuba budinda, era ku lunaku lwokuttikirwa yafuna omukisa okwogera eri abayizi, beyasobola okusomesa ku b'Afirika nengeri abazungu gyebalina okulekera okukyuusa obuwangwa bwabwe. Awo ku nkomerero yekitundu kino, yafuna ekyewuunyo okuva eri omuwala Flora.


Pawulo Kirimuttu EP3: Okutambula Kulaba, Okudda Kutenda
Pawulo Kirimuttu EP3: Okutambula Kulaba, Okudda Kutenda episode artwork
#3
04/06/2024

Paulo nga atuuse e Bungereza yayiga mangu nnyo embeera zaayo era yakola n'emikwano egyamutwala mu binyumu mpozzi olumu n'okumenya ku mateeka ga Kolegi mu bwegendereza.


Pawulo Kirimuttu EP2: Emizimu Gyabajjajjaabo Gikuwerekereko Paulo
Pawulo Kirimuttu EP2: Emizimu Gyabajjajjaabo Gikuwerekereko Paulo episode artwork
#2
04/04/2024

Paulo atuuse okusiibula agende e Buzungu asome. Atandikira wa Ssenga era Ssenga'we ayita ekyalo kyonna kimusibirire entanda.


Pawulo Kirimuttu EP1: Ssekamuli Kansaze
Pawulo Kirimuttu EP1: Ssekamuli Kansaze episode artwork
#1
04/02/2024

Omuwandiisi asumulula emboozi nga atunyumiza ebikwata ku mulenzi Pawulo eyali omuvubuka embula kalevu, omulungi era omusomi kungwa. Atulaga amaziika ge agennaku anti yasangibwa yetuze.


Pawulo Kirimuttu: Entandikwa
Pawulo Kirimuttu: Entandikwa episode artwork
03/31/2024

Omuvubuka omuto omugagga ate ey'asoma nakamala, nga alina n'omulimu ogumuwa lupiiya ate lwaki yeetuga? Tuula tusoosotole Pawulo Kirimuttu.


Bonna Baasumagira? EP12
Bonna Baasumagira? EP12 episode artwork
#12
03/28/2024

Bonna Baasumagira? Ye kituufu bonna baasumagira. Kubanga ssinga Kate teyasumagira nasoma namaliriza emisomo gye, yandibadde alinga banne abaasoma, Ne John singa yali tayonoonye nsimbi ze mubakazi osanga yandibadde mugagga.


Bonna Baasumagira? EP11
Bonna Baasumagira? EP11 episode artwork
#11
03/26/2024

Kate yayagala okulaga John nga bwali ow'ekitalo ennyo. Yasalawo n'agenda mu baala ne Peter nga amanyi bulungi nti John naye ajja kuyitirayo.